Gen. Muhoozi talabiseeko eri palamenti:Ababaka bakubaganye empawa, bamuwadde lwa nkya
Abakulu abaddukanya minisitule y'ebyokwerinda kwosa n'omuduuzi w’amagye ga UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba, olwaleero tebalabiseeko mu kakiiko ka palamenti ak’ebyokwerinda gyebabade balindiriddwa okubaako bye banyonnyola. Okusinziira ku kiwandiiko NTV kyerabyeko, minisita w’ebyokwerinda yasaba ababaka ku kakiiko kano boongereyo ensisinkano okutuusa olunaku olulala kubanga leero minisita abadde ageenda mu lukiiko lwa baminisita okubaako by'ayogerayo. Ababaka bamu bagamba nti tewali tteeka lya menyeddwa akakiiko ka palamenti okuyita omuuduuzi wa UPDF, era nga bakalambidde nti basobola okuyita omuntu yenna.