Hamis Kiggundu asisinkanye aba KCCA ku bibaddewo
Tukitegedde nti kyadaaki Hamisa Kiggundu nyini kizimbe ekiriko enkayana ekigambibwa okuba nga kizimbibwa ku mwala ggwa Nakivubo akkirizza okugira nga ayimiriza okuzimba okutuusa ng’enkayana zino zigonjoddwa. Bino bikanyiziddwako mu nsisinkano ebaddewo olw’eggulo lwaleero wakati w’abakulira KCCA , nnyini Ham group of Companies Hamis Kigundu,abakulira akatale ka Owino, kko n’ab’akulira ekeleziya ya st Balikuddembe.Olunaku olw'enkya bakaanyiza okulambula ekizimbe okuli enkayana bakaanye ku ky'okusalawo.