JOSEPH OKOBOI OPOLOT: Akakiiko k’ebyokulonda kagamba akyali mu lwokaano
Akakiiko k'ebyokulonda kagamba munna NUP Joseph Okoboi akyali mu lwokaano lw'okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Gogonya County era nga wakubeera ku kakonge k'okulonda mu kifo kino. Paul Bukenya ayogerera akakiiko k'ebyokulonda agamba omuntu ey'esimbyeewo ku kaadi y;'ekibiina talina buyinza bweggya mu lwokaano okuggyako ng'ekibiina mwava kye kimuggyemu. Aba FDC bagamba nti yadde nga Okoboi yabafiirizza omwaganya okuvuganya mu kalulu kano enkolagana wakati wabwe ne NUP yakusigalawo.