Kabaka akunze abasiraamu ng’eggwanga lyolekera okulonda
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abayisiraamu okunywereza abaana mu ddiini n'okumanya obukulu obuli mu kusiiba n'okwagalana. Mu bubaka bwe obwa EID EL FITR, Kabaka akulisizza abayisiraamu okumalako ekisiibo wabula n’alaga obwennyamivu olw'ebikolwa ebyobukambwe nettima ebyeyongedde olw'abantu obutaba na ddiini. Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka busomeddwa minisita w’ebyamawulire era omwogezi w’obwakabaka, Owek. Isreal Kazibwe Kitooke.