Ku baakubiddwa mu kulonda e Kawempe waliwo abakyali mu mbeera embi mu malwaliro
Olunaku lw’eggulo nga bannakawempe North nga balonda omubaka waabwe waliwo abantu abaalozezza ku bukambwe bw’abebyokwerinda abaabadde ku gw’okulawuna embeera y’okulonda kuno. Mubano mwemwabadde ne bannamawulire saako n’abakulembeze abali ku mutendera ogw’ababaka ba palamenti era bangi bakyanyiga biwundu. Wadde nga bano obuvune baabufunye bali mu mikono gy’abebyokwerinda kyokka baayimbuddwa tebaguddwaako musango gwonna nga n’abamu baagenze basuulibwa mũ bitundu eby’enjawulo mu budde obw’ekiro. Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aliko baakyalidde abali mu malwaliro ag’enjawulo.