Loodi Meeya ne RedCross balambudde abaakosebwa omuliro e Kamwokya
Loodi Meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago yebazizza ekitongole kya Red Cross olw’obwangu bwekikozesa okuddukirira abantu ababa bakoseddwa ebibamba. Okwogera bino Lukwago abadde mu zone ya Kyamuka e Kamwokya omuliro gyegwayokya ebintu by’abantu newaberawo n’omuyizi eyalugulamu obulamu, nga bano leero Red Cross ebadukiridde n’ebintu eby’enkizo mu bulamu obwabulijjo. KCCA era esinzidde eno okweyama okujjanjaba abo bbona abaasimattuka n’ebisago mpozzi n’okulaba nga bakwasizaako abantu abaakosebwa omuliro okuzzaawo amayumba agali ku palaani. Lukwago abadde ne dayirekita w’ekikula ky’abantu mu KCCA, Sheila Birungi nga yakyikiridde oludda olw’ekikugu.