LUKE JOVAN BWIRE :Wuuno omuyizi eyawonyezza banne okufiira mu muliro
Nga tukyagenda mu maaso n'okutunulira omuliro oguzze gukwata amasomero e Busia , olwaleero tutunuulidde omuyizi ow'emyaka 12 Luke Jovan Bwire eyazuukusa banne nga omuliro gukutte ekisulo bwatyo nataasa abayizi abawerera ddala 58 . Ono yali wamu ne munne Shaffick Mubiru, era nga bayizi mu ssomero lya Victory Nursery and Primary mu tawuni ye Busia.