Minisita Mayanja ayingidde mu nkaayana z’ettaka e Kasese
Minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja ayingidde mu kugonjoola enkaayaana z’ettaka e Kasese wakati w’abalimi Abakonjo n'abalunzi abasongola ezirudde ziranda kati kumpi okumala emyaka 16. Abasongola abalunzi b’ente abaali baddukira e Congo mu biseera by’entalo bwebaakomawo kuno gavumenti nebawa ettaka okwali Abalimi , olwo bbo nebasengulwa nebatwalibwa mu nkambi okumpi n'oluguudo lw'eggaali y'omuka webamaze kati emyaka egisoba mu 15. Kino kyawalirizza minister Sam Mayanja okwenyigira mu nsonga zino okulaba nga zigwaawo.