Nalukoola akawuuse e Kawempe, akakiiko k’ebyokulonda kamulangiridde
Akawungeezi k'eggulo, obunkenke bwasanikide ekisenge akakiiko k'ebyokulonda mwekaalangiriridde eby'enkomeredde okuva mu kalulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North, oluvanyuma lw'abakulu okuva mu kibiina ki NUP okulumiriza nti emiwendo gy'obululu egimu gyabadde gitaataganyiziddwa. Kyokka obunkeke buno bwaddiriddwa essanyu, oluvanyuma lw'okulangirira Nalukoola ng'omuwanguzi mu kalulu kano.