Obufere mu bya zzaabu:Musigansimbi gwe baanyaga obuwumbi yeekubidde enduulu
Uganda y'emu ku mawanga agakyetaaga abasiga-nsimbi okujja bakoleremu olwo kiyambeko eggwanga okufuna ensimbi. Kyokka ate abamu ku basiga-nsimbi abeegwanyiza okukolera kuno, bafundikira beenyiye olwa bannayuganda abagukozesa ng'omukisa okubaferako ensimbi ze baba bazze nazzo. Olwaleero tukuleetedde emboozi gye twanoonyerezaako eyanika bannayuyganda omuli ne munnamateeka omugundiivu, abadda ku munnansi wa German eyali ayagala okwenyigira mu business y'okusuubula zzaabu nebamunyaga obuwumbi 5 mu obukadde bitaano. Musiga-nsimbi ono agamba nti obulamu bwe buli mu katyabaga, kubanga abakulu bano oluvannyuma lw'okumufera ate baatandika okumutisaatisa nti waddira mu Uganda okulondoola ensonga zino, kanaamujjuutuka