Ogw’okutta Katanga, ab’oludda oluwawaabirwa basoyezza Nyangwesho ebibuuzo
Olwaleero okuwulira omusango gw'okufa kwa Henry Katanga kuzzeemu okutojjera mu kkooti enkulu ng'oludda oluwawaabirwa lusoya omujulizi wa gavumenti Naume Nyangwesho ebibuuzo okusobola okuyiwa amazzi mu bujulizi bwe yawa ku bantu be bawolereza. Nyangwesho ono mwannyina w'omugenzi Henry Katanga era nga mu bujulizi bwe yawa wiiki ewedde yategeeza nti omugenzi yali yamutegeezako dda nga namwandu Molly Katanga bw'alina ebigendererwa ebimumiza omusu.