OKUKOZESA OBUBI WOFIISI: Ab’ebyobulamu 15 bayooleddwa e Mbale
Enkya ya leero, ekitongole mu maka g'omukulembeze w’eggwanga ekirondoola eby’obulamu ki State House Health Monitoring Unit ne Poliisi y’ekibuga ky’e Mbale bakoze ekikwekweto mwebayooledde ab'ebyobulamu 15. Abakwate mulimu abakozi b'ameekaliririzo oba Labaratories, n'obulwaliro obutono obuliraanye eddwaliro ly'e Mbale ng'ensonga ezibakwasiizza zekuuka ku nguzi, okukozesa obubi yafeesi zaabwe n'okuyisa obubi abalwadde ababa bagenze gyebali okufuna obujajjabi. Ekikwekweto kino n'olunaku lw'eggulo kyayodde abantu munaana mu ddwaliro ly'e Mbale.