Okukungubagira Paapa Francis kukomekkerezeddwa mu butongole, eby’okumuziika bya lunaku lwa nkya
Olwaleero ekeleziya katolika lw'ekomekkereza emikolo gy'okukungubagira omugenzi Paapa Francis mu butongole , nga yetaketeekera okumuwerera mu lugendo lwe olusembayo olunaku olw'enkya.Tukitegedde nti sanduuke omuli omulambo gwa paapa olw'eggulo lwa leero nayo lw'esibwa mu butongole , obutaddamu kulabwako olubeerera.Webuwungeeredde ng'abantu babooze mu kibagirizi kya St Peters Square nga balindirira okwetaba mu mukolo gw'okuziika enkya.