Okutumbula empeereza :Red Cross enoonya bannakyewa abagiyambako mu mirimu
Ekitongole ki Uganda Redcross society kikoowodde banna uganda okuvaayo okulaba nga bakyegattako okutuusa obuweereza ku bantu abali mubwetaavu. Batubuulidde nti wewaawo bakola buli ekisoboka okuyamba ababa bali mu bwetaavu wabula obusobozi obutuuka ku buli omu tebabulina olw'obufunda bw'ensawo. Kati waliwo kaweefube gwebatandisewo atuumiddwa HUMANITY NEEDS YOU " nekigendererwa ky'okukunga abantu okubegattako mu mirimu gyebakola mu nkola y'obwanakyewa.