Okutuuka ku meefuga: Augustine Ruzindana anyumya ebyaliwo mu 1962
Augustine Ruzindana abadde kitundutundu ku by’obufuzi by’eggwanga lino okuviira ddala mu nnaku ze ng’asoma ku yunivasite mu myaka gya 1960 bwe yali mu bibinja by’abayizi ebyakubaganyanga ebirowoozo ku mugendo gw’eby’obufuzi by’eggwanga. Wakati wa 1972 ne 1973 yatendekebwa n’ekibiina ki Front for National Salvation (FRONASA) mu ggwanga lya Mozambique, era nga nga bwemutuula okunyumya ku meefuga ga Uganda, wamma emboozi egwa amakerenda.Ono nga yaliko omumyuka w'omuteesiteesi omukulu ow'ekibiina ki FDC yawayizzaamu naffe mu mboozi ey'akafubo, okutukubira tooci mu wwa Uganda gy'evudde.