Okutwala abantu e Bweru: Abaagala okugenda e Somalia olujji luggule
Kitegerekese nga Somalia kati bweyegasse ku mawaga bannayuganda gyebatwalibwa okukuba ekyeyo. Era kati lino lyelimu ku mawanga gavumenti gekolera enteekateeka enatuusa n'okusa emikono ku biwandiiko okwongera okutwalayo abakozi mu kaweefube w'okulwanyisa ebbula ly'emirimu . Mu mawanga amalala mulimu Oman ne Lebanon.