OKUVUBIRA EBUSUKKANSALO: Uganda ne DR Congo bawanyisiganyizza abakwate
Ab’obuyinza mu Uganda ne Democratic Republic of Congo bawanyisiganyizza abavubi abaakwatibwa nga bavuba ebusukkansalo ku nnyanja Edward.Uganda ewaddeyo Bannansi ba Congo 14 beyakwatira ewaayo omwezi oguwedde ssaako ebivubisibwa bye baali nabyo so nga ne Congo ekwasizza Uganda abavubi bana beyakwatira ku ludda lwayo. Bino bibadde mu town Council ye Katwe - Kabatooro esangibwa mu disitulikiti ye Kasese.