Okuwaaba emisango: Ssaabawaabi Abodo agamba empeereza erongoose
Woofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti yenyumiriza mu mpeereza yaayo gye gamba nti eyongedde okulongooka oluvannyuma lw’okuwandiisa abawaabi abapya abawera kikumi omwaka oguwedde. Okusinziira ku Ssaabawaabi wa gavumenti Jane Frances Abodo, bongedde okukola ku misango nga mu quater y’omwaka gw’ebyensimbi guno emisango gye baakolako gyeyongera okutuuka ku bitundu 22 ku kikumi Waliwo ne bannamateeka abatubuulidde nti mu kiseera kino kizibu okugenda mu kkooti notasangayo muwaabi wa gavumenti.