Okuyimiriza NEMA; abatuuze baddukidde mu kkooti okutaasa amayumba gaabwe
Kkooti etaddewo olunaku lw'okutaano wiiki eno okuwulira okusaba kwabatuuze mu ggombolola ye Makindye Ssaabagabo abaagala ekitongole ki NEMA kikugirwe okumenya amayumba gaabwe. Wetwogerera ng'amayumba agawera mu ggombolola eno gateereddwako laama eraga nti gagenda kumenyebwa ekyalese ng'abatuuze basobeddwa.