OKUZZA OBUGGYA ENDAGAMUNTU: Aba NIRA bagamba olina kusooka kuwaayo nkadde
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ndangamuntu ekya National Identification Registration Authority (NIRA), ssi kyakuzza bujja ndagamuntu ya muntu yenna anabeera tawedeeyo nkadde .Okusinziira ku mwogezi w’ekitongole ki NIRA, Osborn Mushabe bangi ku bannayuganda beesuliddeyo gwanaggamba ku kyokuzza obuggya endagamuntu zaabwe nga kyoka mu kaseera mpa wekaaga NIRA yakutandika okufulumya densite ezitambulira ku tekinologiya.