OKWEKALAKAASA KW’ABASUBUUZI: Bannanyini bizimbe begaanye okukumamu omuliro
Bannanyini bizimbe mu Kampala beesambye ebibadde bigambibwa nti baggaddewo ebizimbe byabwe olwo nebalemesa abasuubuzi okukola. Bino bibadde mu nsisinkano gye babaddemu olwaleero ne Ssabaminisita Robinah Nabbanja, era nga yeetabiddwamu minisita wa Kampala, akulira poliisi mu ggwanga, omwogezi wa KACITA wamu n'abakungu abalala.Mu kibuga emirimu gibadde gitambula kasoobo kubanga era amaduuka agawerako gabadde maggale era bano bawera nti okutuusa ng'omukulembeze w'eggwanga abasisinkanye, sibaakussa mukono.