OKWONOONA ENTOBAZZI: Waliwo essomero e Fort Portal eriri mu matigga
Okwonona entobazi okweyongedde mu kibuga Fort Portal kutandise okukosa abantu abamu nga wetwogelera nekitundu ky’essomero lya pulayimare elya Rwenzori Islamic elisangibwe e Kagote mu Fort Portal Central Division kimaze okusalwako amazzi ekyeraliikirizza abaliddukanya. Waliwo okwemulugunya mu bakulembeze b’ekitundu kino eri NEMA gye bagamba nti tekoze kimala kukwasisa mateeka ku bantu abagufudde omuze okwonoona entobazzi.