Omubaka Malende embeera ye tennatereera, akyali mu ddwaliro e Nsambya
Mu kavuyo akaaliwo nga palamenti eyisa ebbago lyetteeka ku mmwanyi, Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende y'omu ku baafuna obuvune era naddusibwa mu ddwaliro e Nsambya.Ono yategeeza obuvune buno bweyali abufunye olw'okuwuttulwa abebyokwerinda abaamukwata ne bamufulumya palamenti ku mpaka .Kati nga wayise emyezi ebiri okuva olwo, Malende akyali mu ddwaliro lino era ng'embeera ye tennatereera bulungi Raymond Tamale alina ebisingawo .