OMULIRO E KALANGALA: Ebintu bisanyeewo ku kizinga Kyagalanyi
Omuliro ogukute omwalo Kyagalanyi mu Gombolola y'e Bujumba e Kalangala gusaanyiizaawo ebintu by'abavubi bya bukadde era nga bangi tebasigaza kintu nakimu, nga bakyasobeddwa webagenda okusula. Sso nga ate wadde abantu bangi babadde besunga e nkumba mu bituntu ebimu e mubende waliyo beelese nga tebalina wakusula.