Omusujja gw’ensiri gweyongedde, gav’t egamba abantu tebakozesa bulungi butimba bwa nsiri
Minisitule y’eby’obulamu etegezeza ng’enkozesa embi ey’obutimba bw’ensiri bwekikyali ekimu kwebyo ebisinze okuviirako okweyongera kw’omusujja gw’ensiri mu Uganda.Bagamba nti newankubadde gavumenti gyebuvudeko yagabira abantu okwetoloola eggwanga obutimba bw’ensiri n’ekigenderera eky’okulwanyisa omusujja gw’ensiri,kyewunyisa okulaba nga gweyongerabweyongezi.Minisita w’eby’obulamu Jane Ruth Aceng akubiriza abantu okwetanira enkola ezateekebwaawo gavumenti okulwanyisa omusujja gw’ensiri.