Omwana gwe baggyamu eriiso: Nnyina agamba ayagala bamuwe eriiso ekkolerere
Waliwo omuzadde ali mu kulaajana oluvannyuma lwa muwala we ow'emyaka 10 okuggyibwamu eriiso erimu nga kiteeberezebwa obuzibu bw’ava ku ddagala eryamuteekebwa ku liiso bwe yatwalibwa mu kilinika okujjanjabibwa. Kyokka abakugu era bagamba obuzibu buyinza okuba nga bwava ku ebyo ebiyinza okuba nga byaliwo nga abazadde tebannaddusa mwana ono mu ddwaaliro oluusi bye batasobola kubuulira basawo. Nnyina w’omwana ayagala muwala we afune waakiri eriiso ekkolerere wabula nga ensimbi zimwekubya mpi.