Owek’ Mayengo ayogedde lwaki okulonda okw’emirembe kukyalemye mu Uganda
Eyali omumyuka wa pulezidenti wa Uganda Patriotic Movement UPM eyavaamu ekibiina ky’abayekera abaleeta gavumenti eriko mu buyinza, Owek. Israel Mayengo agambye nti ekikyalemesezza okulonda mu Uganda okuba okw’emirembe n’obwenkanya kye ky’okuba ng’eggwanga terinnaba kugezesa kya kukyuusa Omukulembeze w’eggwanga mu mungeri ey’emirembe okuviira ddala Uganda lweyafuna obwetwaaze. Ono agamba nti okujjako akalulu ka 1980, gavumenti ezasooka tezaafuna mukisa gumala kutegeka okulonda okwesigamye ku mazima n’obwenkanya nga kati okusoomooza kuli ku gavumenti ya NRM okutegeka akalulu akataliimu kyekubiira wabula nayo ekyalemereddwa okujja amagye mu by’okulonda. Ono alaze obwennyamivu olw’emivuyo egyalabikira mu kalulu ka kawempe north ak’okujjuza ekifo ky’omubaka w’ekitundu kino mu palamenti.