Poliisi yeetemye engalike: Emaze n’ewa obukuumi abeetabye mu ttabamiruka wa Biriggwa
Poliisi ekedde kusuula misanvu ku luguudo olutuuka ku Nature’s Green beach e Busaabala okukugira bannakibiina ababadde basuubirwa okugenda mu kifo kino, okwetaba mu ttabamiruka wa FDC eyayitiddwa Ssentebe, Wasswa Biriggwa. Wabula bano oluvannyuma bakubye poliisi ekimmooni ttabamiruka nebamutuuza ku wofiisi za Dr. Besigye ku luguudo lwa Katongo.
Kyokka, waliwo abamu ku bakiise, poliisi beekubyemu omukka ogubalagala nga ebaziyiza okutuuka awabadde ttabamiruka.
Mubifo byombi, poliisi ebaddeyo mu bungi okwenganga embeera eyakajagalalo, ebadde eyinza okubalukawo.