RDC w’e Mityana alagidde abatuuze baddeko ku ttaka ly’eddwaliro lye Mmengo
RDC w'e Mityana Joseph Mukiibi alagidde abatuuze mu maka 150 baddemu okusenga ku ttaka ly'eddwaliro lye Mengo erisangibwa ku kyalo Gayaza mu ggombolola ye Banda mu disitulikiti e Mityana. Kitegeerekese nti Mengo erudde ng'esaba abatuuze okwetegula ettaka lino balikolereko ebyabwe wabula nga beefudde bannampulira zibi. Gyebuvuddeko n'omu ku bantu ababadde bakuuma ettaka lino yasangidddwa ngattiddwa era nga kirowoozebwa nti byekuusa ku nsonga eno.