Temudda mu ttamiiro na bwenzi - bannadiini balabudde abakkirizza
Bannaddiini mu bitundu by'e Tooro baagala abalonzi okweyambisa omwaka ogujja 2025, okwetegereza engeri gye bagenda okulondamu mu kalulu ka 2026. Bano okuli omulabiririzi w'e Rwenzori n'omusumba w'essaza ly'e Fort Portal Robert Muhiirwa bennyanvu olw'obwavu mu kitundu kyabwe ekiviiriddeko obuseegu okweyongera nga kati n'abawala abateetegese bafuna embuto. Bino bibadde mu bubaka bwabwe obwa Ssekukkulu.