UNEB efulumizza ebigezo bya siniya 6, abawala bakoze bulungi
Abaana abawala baleebezza bannaabwe abalenzi mu bibuuzo bya Siniya ey'omukaaga ebyo mwaka oguwedde Ku bayizi abaatuula ebibuuzo bino baali 140,888 , era nga abasinga baakoze bulungi nga bayinza okweyongerayo n'emisomo gyabwe. Abakulu mu UNEB batubuulidde nti newankubadde abawala baakoze bulungi, omuwendo gw'abo abatuula siniya ey'omukaaga gw'ongedde okwesala bw'ogerageeranya n'emyaka egiyise.