Waliwo bannayuganda abakukkulumidde Umeme
Ng’ekitongole ki UMEME kifundikira kontulakiti yaakyo ey’okugaba amasanyalaze mu ggwanga, abatuuze mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bakyali mukulajana olw’ekibululu ekisuse olw’amasanyalaze okuvaavaako entakera. Bizineesi ez’ekiro n’ezo eziyimiriddewo ku masanyalaze zezimu ku zisinze okukosebwa mu mbeera eno. Olukongoolo bangi balutade ku UMEME gye bagamba nti kati yeesuulirayo gwa naggamba olw’okuba bagenda.