Waliwo omusajja akwatiddwa poliisi e Bukomansimbi lwakukabasanya baana
Waliwo omusajja akwatiddwa poliisi ku kyalo Lugando mu gombolola ye Bukango e Bukomansimbi ku bigambibwa nti abadde akakkana ku baana ba muganda we nabakabasanya. Kitegeerekese nti oluvannyuma lwa maama w'abaana bano okufa, kitaabwe yabakwata nabakwasa muganda we amuyambeko abasomese ku ssomero lye wabula nga ono kigambibwa nti yali yabafuula bakyala be. Poliisi etukakasizza nti ebyavudde mu kwekebejja abaana bano biraga nti ddala babadde bakozesebwa.