Ab'e Buwama batandise okusalira ebisoomooza omwana ow'obuwala amagezi
Obwavu obweyongera obungi mu maka buviiriddeko abaana ab'obuwala bangi okusuulirirwa abazadde baabwe nebafundikira nga bawanduse mu masomero n'okukabasanyizibwa.Kati okulwanyisa embeera eno waliwo ebibiina by’obwannakyewa ebivuddeyo okuduukirira abaana ab’obuwala okulaba nga basigala mu ssomero e Kammengo mu town council y’e Buwama mu Mpigi.