Aba PFF bakedde kulaga butali bumativu bwabwe ku mbeera ya Rt. Col. Dr Kiiza Besigye
Bannakisinde ki PFF bakedde kulaga butali bumativu bwabwe ku mbeera ya Rt. Col. Dr Kiiza Besigye gyalimu mu kkomera. E Jinja babadde bateegese okusaba ku kisaawe kye Kakindu wabula tebakiriziddwa ate Mbarara batambudde nge bakutte ebipande ebiriko obubaka obwemulugunya olwa Dr. Besigye okusibibwa mu kkomera.