Aba UWEP balabudde ebibiina by'abakyala ebyewola ssente
Ekibiina ky’abakyala eky’okwekulaakulanya ki Uganda Women enterprenourship Program (UWEP), kitegeezezza nga bwekigenda okukuba ebibiina by’abakyala eby’enjawulo mu mbuga z’amateeka olw’okulemwa okusasula ssente ezaabiwolwa kati emyaka 6. Bano basinzidde mu disitulikiti ye Hoima gyebalambulidde abakyala ab’enjawulo. Kyokka abakyala bategeezezza nga omuggalo gwa Covid bwegwabakosa ennyo, nga baakadda engulu okubaako kyebakola.