Mathias Mpuuga ne banne basisinkanye ekibiina kya FDC
Akulira ekisinde ki Democratic Alliance Mathias Mpuuga ne banne basisinkanye ekibiina kya FDC n’ekigendererwa eky’okulaba nga bagatta amaanyi okubaako bye bakyusa mu kisaawe ky’obufuzi. Essira bano balitadde ku nnongosereza mu tteeka ly’eby’okulonda nabutya obukulembeze mu Uganda bwebukyusibwa awatali kuyiwa musaayi. Ensisinkano eno ebadde yakafubo nga bannamawulire tebakiriziddwamu.