Akakiiko k’eby’okulonda kalabuddwa nti kandikubibwa mu mbuga z’amateeka
Akakiiko k’eby’okulonda kalabuddwa nti kandikubibwa mu mbuga z’amateeka olw’obukwakulizo obwateereddwa ku bavubuka abagenda okwendiisa okulonda omulundi gwabwe ogusooka. Kino kidiridde abakakiiko okwagala omuvubuka yenna agenda okwewandiisa okusooka okukakasibwa ow’eby’okwerinda ku Gombolola oba muyite GISO ekitali mu mateeka nga kino kyakukaluubiriza n’abantu bangi abandyagadde okwewandiisa okulonda.