Abatuuze e Mityana bali mukusoberwa olw’ekivundu ekisusse
Abatuuze ku kyalo Namukozi ekisangibwa mu Central division mu munisipaali ya Mityana bali mukusoberwa olw’ekivundu ekisusse ekiva mu kasasiro ayiibwa mukitundu kyabwe. Bano bagamba kasasiro atuuse ne ku nyumba zaabwe nga kati ekivundu tekibaganya nakwebaka. Abakulembeze bagamba ekizibu kino bakimanyiiko naye nga obuzibu bwa kasasiro abasuseeko obungi, nga nabo bakyanoonya wakumuyiwa walala.