Omuwanika w’obwakabaka bwa Buganda ayanjulidde obuganda ensimbi ezakung’aanyizibwa omwaka oguwedde
Omuwanika w’obwakabaka bwa Buganda era nga ye mumyuka wa Katikkiro ow’okubiri Owek. Waggwa Nsibirwa, ayanjulidde obuganda ensimbi ezakung’aanyizibwa omwaka oguwedde mu nkola y’oluwalo n’ensaasanya yaazo. Akawumbi kamu n’obukadde obusaba mu 686 zezakungaanyizibwa nga ensimbi enyingi zagenda ku kukubisa satifikeeti eziweebwa abeetabye mu nteekateeka eno nekuddako eby’obulamu.