Ababadde bawangaalira mu nkambi y’e Kiteezi bagyabulidde
Ababadde bawangaalira mu nkambi y’e Kiteezi olwaleero bagyabulidde nga bwebaalagiddwa minisita omubeezi ow’ebigwa tebiraze Lillian Aber. Wetutuukidde mu nkambi eno nga ekitongole ki Red Cross kitandise okupanguluka weema zaakyo okuva mukifo kino.