Abantu bana bafiridde mu kabenje e Luweero, mukaaga nebaddusibwa mu ddwaliro
Abantu bana bafiriddewo n’abalala mukaaga nebaddusibwa mu ddwaliro n’ebisago oluvanyuma lw’okufuna akabenje ku kyalo Nakazzi mu disitulikiti y’e Luwero ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu. Akabenje kano kigambibwa nti kavudde ku mugoba wa Ttata ayingiridde taxi ebadde edda Kampala n’ezikubagana. Omugoba wa Taxi Moses Kitata y’omu ku bafudde.