Abatuuze e Busia bennyamivu olw'eby'enfuna ebiserebye mu kitundu kyabwe
Abatuuze mu Kibuga ky'e Busia bennyamivu nti singa mpaawo kikolebwa okuzza engulu eby'enfuna by’ekitundu kyabwe, ekibuga Busia kyolekedde okufuuka amatongo. Bano bagamba nti okuva gavumenti lweyajja abakola ku by'emisolo e Busia bayite ba Clearing agents n'ebazza e Kampala emirimu gyakendeera, songa n'okusaanawo kw'akatale k'abalimi kwayongera mitawaana. Abakulira ekibuga kino baagala gavumenti ebawe omutemwa ku nsimbi eziva mu Zzaabu asimwa mu kitundu kyabwe, kiyambeko okubbulula enkulaakulana eseebengerera.