Abatuuze e Njeru mu disitulikiti y’e Buyikwe balaajana olw'amakubo agasusse okuba mu mbeera embi
Abatuuze n'abakulembeze mu minisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buyikwe balaajana olw'amakubo agasusse okuba mu mbeera embi naddala mu kiseera kino eky’enkuba. Amakubo agamu amazzi gaasalako dda, nga okugayitamu kizibu kyenyini, nga n’amalala oyinza okulowooza nyanga za walumbe. Abatuuze olunwe balusonze mu bakulembeze baabwe, bebagamba nti babasindika okubateeseza, bwebatuuka nebabeerabira.