Poliisi mu Kampala etandise omuyiggo gw’omuserikale waayo akubye dereeva essasi erimutiddewo
Poliisi mu Kampala etandise omuyiggo gw’omuserikale waayo akubye dereeva essasi erimutiddewo. Charles Bahati y’avude mu mbeera natta Julius Ssemwaka ng’amulanga okulemera mu kkubo. Bano babade ku kabangali nga baliko keeki gyebabadde batwala.