Poliisi yenyamidde olw’obubbi bw’ebisolo obweyongedde naddala mu biseera bino eby'ennaku enkulu
Poliisi yenyamidde olw’obubbi bw’ebisolo obweyongedde naddala mu biseera bino nga ennaku enkulu zisembedde. Poliisi ekubirizza abantu okuba abegendereza, era neewera nga bwetagenda kuttira muntu yenna ku liiso. Era oluguudo oluva E kassanda okudda e Mubende lugaddwa oluvanyuma lw’okusalibwako amazzi.