Minisitule y’ekikula ky’abantu erabude abantu okwewala ebikolwa by’obutabanguko mu maka
Gav’t ng’eyita mu minisitule y’ekikula ky’abantu erabude abantu okwewala ebikolwa by’obutabanguko mu maka naddala mu nnaku zibo enkulu. Minisita w’ekikula ky’abantu Betty Amongi agamba munnaku zino, amaka manji gasasika nga entebwa eva ku butabanguko mu maka. Asabye abantu okubakwasizaako okukendeeza omuze guno.