Enteekateeka z’ekivvulu ky’enkuuka nga kino kibeerawo buli nga 31 December ziwedde
Enteekateeka z’ekivvulu ky’enkuuka nga kino kibeerawo buli nga 31 December ziwedde nga ab’eby’okwerinda basisinkanye abategesi b’ekivvulu kino okusala entotto butya bwekigenda okutambula awatali kitaataganya kyonna. Ab’eby’okwerinda wano webaviiriddeyo ne balabula abakozi b’effujo n'abo abeteeseteese okumenya amateeka obutetantala kugenda mu kivvulu kino.