Mu mboozi eno twogeddeko nebanaddiini eb’enjawulo ku Adventu, amatuuka oba amajja ga Kristu
Ssekukkulu bweba enaatera okutuuka kaba keetalo eri abagoberezi ba Kristo Yesu. Akadde ako kaliko n’amannya ag’enkizo era abakkiriza n’ababuulizi embeera zaabwe ez’obuntu n’ez’emyoyo zikyukira ddala. Mu mboozi eno twogeddeko nebanaddiini eb’enjawulo nebatunyonnyola ekiseera ekimanyiddwa nga ADVENTU, AMATUUKA OBA AMAJJA ga Kristu.