Aba FDC y'e Katonga bakwekalakaasa olwa Dr. Kizza Besigye okwawulwa ku basibe abalala
Abakulembeze ba FDC ey'e Katonga abeegattira ku kisinde ki People’s Front for Freedom PFF batiisizatiisizza okwekalakaasa nga bawakanya eky'abakulira ekitongole ky'amakomera okwawula Dr. Kizza Besigye ku basibe abalala.Abakyalidde ku Besigye batubuulidde nti baamujja dda mu banne sso nga tebandyagadde abeere mu kiwubaalo kya kkomera.Bano babadde bamutwalidde ku bya ssava bya ssekukkulu naye asobole okugikuza mu kkomera gyali.